Exodus 38:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empagi zaalwo zaali nnya; entobo zaazo ennya zaali za kikomo. Amalobo gaazo nga ga ffeeza, emitwe gyazo nga mibikkeko ffeeza, emikiikiro gyazo nga gya ffeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwalina empagi nnya, n’entobo zaazo nnya nga za kikomo, n’amalobo gaazo n’emikiikiro nga bya ffeeza, ne kungulu kwonna ne kubikkibwako ffeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'empagi zaabyo zaali nnya, n'ebinnya byazo bina, eby'ebikomo; ebikwaso byazo bya ffeeza, n'eby'okubikka ku mitwe gyazo n'emiziziko gyazo bya ffeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali luwaniriddwa ku bikondo bina, ebiri mu binnya bina eby'ekikomo. Amalobo gaabyo n'emitwe gyabyo, n'oluuma lwabyo byali bya ffeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'empagi zaabyo zaali nnya, n'ebinnya byazo bina, eby'ebikomo; ebikwaso byazo bya ffeeza, n'eby'okubikka ku mitwe gyazo n'emiziziko gyazo bya ffeeza.