Exodus 38:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku nsonda zaagwo ennya yakolerako amayembe, amayembe gaayo nga gali ddala kuli; n'agibikka n'ekikomo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku nsonda zaakyo ennya yakolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe yabibajja bumu mu nduli y’omuti emu. Ekyoto kyonna n’alyoka akibikkako ekikomo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya; amayembe gaakyo gaali ga mulimu gumu nakyo; n'akibikkako ekikomo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola amayembe gaayo ku nsonda zaayo ennya, nga ga muti gwe gumu n'ogwayo, n'agibikkako ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya; amayembe gaakyo gaali ga mulimu gumu nakyo: n'akibikkako ekikomo.