Exodus 38:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eno ye mbalirira y'ebintu ebyakozesebwa ku Kisulo, kwe kugamba Ekisulo ky'Endagaano, embalirira Musa gye yalagira ekolebwe, Abaleevi gye baakola nga Yitamari mutabani wa Aroni kabona abalagirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye bintu byonna ebyakozesebwa ku Weema, Eweema ya Mukama ey’Obujulizi, nga Musa bwe yalagira okubibala bikozesebwe Abaleevi nga balabirirwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Guno gwe muwendo ogw'ebintu eby'eweema, ye weema ey'obujulirwa, nga bwe byabalibwanga Musa bwe yalagira, olw'okuweereza kw'Abaleevi, mu mukono gwa Isamaali, omwana wa Alooni kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Luno lwe lukalala lw'ebintu ebikozesebwa mu Weema Entukuvu, eyaterekebwamu ebipande eby'amayinja, okwawandiikibwa ebiragiro ekkumi. Musa ye yalagira Abaleevi okukola olukalala olwo, nga balabirirwa Yitamaari, mutabani wa Arooni kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Guno gwe muwendo ogw'ebintu eby'eweema, ye weema ey'obujulirwa, nga bwe byabalibwa nga Musa bwe yalagira, olw'okuweereza kw'Abaleevi, mu mukono gwa Isamaali, omwana wa Alooni kabona.