Exodus 38:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'ayambibwako Oliyabu mutabani w'Akisamaki, ow'ekika kya Daani, omufundi, omulusi era omudaliza w'engoye mu wuzi eza bbululu, eza kakobe n'entwakaavu ne mu lugoye olwa bafuta olulange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
baakolera wamu ne Okoliyaabu, mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, eyali omukugu ennyo mu kwola ne mu kutetenkanya, n’okutunga amajjolobera mu linena ennungi endebevu ennange n’ewuzi eza bbululu ne kakobe ne myufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era wamu naye waaliwo Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani, omusazi w'amayinja, era omukozi ow'amagezi, era omudaliza wa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era yayambibwako Oholiyaabu mutabani wa Ahisamaki, ow'omu Kika kya Daani, omusazi w'amayinja omutetenkanya, era amanyi okudaliza engoye ennungi, enjeru, n'eza bbululu, n'eza kakobe, n'Emmyufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)