Exodus 38:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obungi bwa zaabu eyakozesebwa ku mulimu gwonna ogw'Ekitukuvu, zaabu eyali aleeteddwa ng'ekitone eky'okuwuuba, yali wa talenta abiri mu mwenda ne sekeli lusanvu mu asatu, ng'obalidde ku sekeli ey'Ekitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zaabu yenna eyali aweereddwayo eri Mukama, eyakozesebwa mu kuzimba ekifo ekitukuvu, yali nga ttani emu, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zaabu yonna gye baakoza omulimu gwonna ogw'awatukuvu, ye zaabu ey'ekiweebwayo, yali ttalanta abiri mu mwenda (29), ne sekeri lusanvu mu asatu (730), nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaabu yenna eyaweebwayo olw'omulimu ogw'okukola Eweema Entukuvu, yaweza talanta amakumi abiri mu mwenda, ne sekeli lusanvu mu asatu, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zaabu yonna gye baakoza omulimu mu mulimu gwonna ogw'awatukuvu, ye zaabu ey'ekiweebwayo, yali ttalanta abiri mu mwenda, ne sekeri lusanvu mu amakumi asatu, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri.