Exodus 38:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffeeza eyakuŋŋaanyizibwa oluvannyuma lw'okubala abantu yazitowa talenta kikumi ne sekeli lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano, ng'obalidde ku sekeli y'Ekitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ffeeza eyaweebwayo abaabalibwa nga bava mu kibiina mu kubala abantu, yali wa kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ffeeza ez'abo abaabalibwa ab'ekibiina yali ttalanta kikumi (100), ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano (1,775), nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate ffeeza eyava mu abo abaabalibwa mu kubalibwa kw'abantu, yaweza talanta kikumi, ne sekeli lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ffeeza ez'abo abaabalibwa ab'ekibiina yali ttalanta kikumi, ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri: