Exodus 38:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli muntu yawa beka emu, oba kitundu kya sekeli ng'obalidde ku sekeli y'omu Kitukuvu, okuva ku buli yenna aweza emyaka amakumi abiri n'okusingawo eyayingizibwa mu baabalibwa. Abaabalibwa baawera abasajja obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, buli muntu yawangayo gulaamu ttaano ne desimoolo ttaano ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli ng’aweebwayo abo abaabalibwa nga bava ku myaka egy’obukulu amakumi abiri n’okweyongerayo, bonna baawera abasajja obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
buli muntu beka emu, kye kitundu kya sekeri, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri. Abo abeetaba mu kubalibwa, be bo abaali bawezezza emyaka egy'obukulu abiri (20) n'okusingawo. Baali emitwalo nkaaga, mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano (603,550).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abeetaba mu kubalibwa kw'abantu, be bo abaali bawezezza emyaka egy'obukulu amakumi abiri n'okusingawo. Baali emitwalo nkaaga, mu enkumi ssatu, mu bitaano mu ataano. Buli omu yawangayo omuwendo ogwagerekebwa, ogwa beka emu, kye kitundu kya sekeli, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
buli muntu beka emu, kye kitundu kya sekeri, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri, buli muntu eyayita okugenda mu abo abaabaliddwa, abaakamala emyaka abiri oba kusukkawo, abantu obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.