Exodus 38:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Talenta kikumi eza ffeeza zaakola ku ntobo z'Ekitukuvu n'olutimbe; talenta kkumi zaagenda ku ntobo kikumi, kwe kugamba nti talenta emu ku buli ntobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffeeza ow’obuzito bwa kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina ye yasaanuusibwa okukolamu entobo ekikumi ez’Awatukuvu n’eggigi: noolwekyo, nga buli kilo amakumi asatu mu nnya zikola entobo emu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ttalanta kikumi (100) eza ffeeza zaali za kufumba ebinnya eby'awatukuvu, n'ebinnya eby'eggigi; ebinnya kikumi (100) byava mu ttalanta kikumi (100), buli kinnya ttalanta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Talanta kikumi eza ffeeza, ze zaakozesebwa okukola ebinnya ekikumi ebya Weema Entukuvu n'eby'olutimbe, talanta emu buli kinnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ttalanta kikumi eza ffeeza zaali za kufumba ebinnya eby'awatukuvu, n'ebinnya eby'eggigi; ebinnya kikumi byava mu ttalanta kikumi, buli kinnya ttalanta.