Exodus 38:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
entobo z'oluggya olwetooloddewo, omulyango gw'oluggya, enkondo zonna ez'Ekisulo n'enkondo zonna ez'oluggya olwetooloddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ekituurwamu okwebungulula oluggya, n’ekituurwamu eky’omulyango omunene ogw’oluggya, n’enkondo zonna ez’Eweema ya Mukama, n’enkondo zonna okwebungulula oluggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ebinnya eby'oluggya okwetooloola n'ebinnya eby'oluggi olw'oluggya, n'enninga zonna ez'eweema, n'enninga zonna ez'oluggya okwetooloola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ebinnya okwetooloola oluggya, n'ebinnya eby'emyango egy'omulyango gw'oluggya, n'enkondo zonna okwetooloola oluggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebinnya eby'oluggya okwetooloola n'ebinnya eby'oluggi olw'oluggya, n'enninga zonna ez'eweema, n'enninga zonna ez'oluggya okwetooloola.