Exodus 38:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yagissa mu mpeta eziri mu mbiriizi z'omwaliiro okugusitula. N'akola omwaliiro gw'embaawo nga mwereere munda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asonseka emisituliro egyo ng’agiyisa mu mpeta mu mbiriizi z’ekyoto, gikozesebwenga ng’ekyoto kisitulwa. Yakikola n’embaawo nga wakati kya muwulukwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayingiza emisituliro mu mpeta ez'oku mbiriizi ez'ekyoto okukisitulirangako; yakikola n'embaawo, nga kirina ebbanga munda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agiyingiza mu mpeta ku buli ludda olw'alutaari, okugisitulirangako. Alutaari yagikola nga ya mbaawo, era ng'erina ebbanga munda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayingiza emisituliro mu mpeta ez'oku mbiriizi ez'ekyoto, okukisitulirangako; yakikola n'embaawo nga kirina ebbanga munda.