Exodus 38:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekinaabirwamu eky'ekikomo, n'ekikondo kyakyo eky'ekikomo ng'abiggya mu ndabirwamu z'abakazi abaweereza ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebbensani ey’ekikomo n’akameeza kaayo, bye yaweesa okuva mu ndabirwamu ez’ekikomo ezaagabwa abakazi abaaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola eky'okunaabirangamu eky'ekikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, n'endabirwamu ez'abakazi abaweereza abaaweerezanga ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ebbenseni ey'ekikomo n'ekikondo kyayo eky'ekikomo, ng'akozesa endabirwamu ez'abakazi abaaweerezanga ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola eky'okunaabirangamu eky'ekikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, n'endabirwamu ez'abakazi abaweereza abaaweerezanga ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu.