Exodus 38:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola oluggya, ku ludda olw'emaserengeta. Entimbe z'oluggya zaali za lugoye olwa bafuta olulange emikono kikumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyaddirira, yakola oluggya. Ku luuyi olw’obukiikaddyo, oluggya lwali obuwanvu mita amakumi ana mu mukaaga, nga lulina amagigi aga linena omulungi omulebevu alangiddwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola oluggya; ebyatimbibwa eby'oluggya eby'oluuyi olw'obukiikaddyo byali bya bafuta ennungi erangiddwa, emikono kikumi (100);
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola oluggya lw'Eweema Entukuvu, n'alwetoolooza entimbe ez'olugoye olulukiddwa obulungi. Ku ludda olw'ebukiikaddyo, entimbe zaali za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola oluggya: ebyatimbibwa eby'oluggya eby'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo obukiika obwa ddyo byali bya bafuta ennungi erangiddwa, emikono kikumi: