Exodus 39:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baakola ebyambalo ebiruke olw'okuweereza mu kitukuvu mu wuzi eza bbululu, kakobe n'entwakaavu ne mu ngoye eza bafuta. Era Aroni baamukolera ebyambalo eby'omu Kitukuvu ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bakola, mu wuzi eza bbululu; ne kakobe ne myufu, ebyambalo ebirukiddwa obulungi eby’okuweererezangamu mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera ne Alooni ebyambalo ebitukuvu, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne babikoza ebyambalo ebyalangibwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ne bakolera Alooni ebyambalo ebitukuvu; Mukama nga bwe yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakozesa ewuzi eza langi eya bbululu n'eya kakobe, n'Emmyufu, okukola ebyambalo ebirukiddwa obulungi, eby'okwambalibwanga bakabona, nga baweereza mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera Arooni ebyambalo ebitukuvu, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne babikoza ebyambalo ebyalangibwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ne bakolera Alooni ebyambalo ebitukuvu Mukama nga bwe yalagira Musa.