Exodus 39:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amayinja gaali kkumi n'abiri ku lw'Abayisirayeli, amannya gaabwe nga gooleddwako, buli jjinja n'erinnya ku lw'ebika ekkumi n'ebibiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo amayinja ag’omuwendo kkumi n’abiri, nga ku buli limu kusaliddwako erimu ku mannya g’abaana ba Isirayiri. Gaasalibwa bulungi ng’obubonero obuwoolebwa nga ku buli limu kuliko erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amayinja ne gaba ng'amannya g'abaana ba Isiraeri, ekkumi n'abiri (12), ng'amannya gaabwe bwe gaali; ng'akabonero bwe kasalibwa, buli muntu ng'erinnya lye, ebika ekkumi n'ebibiri (12).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli limu ku mayinja ago ekkumi n'abiri, ne lyolebwako erinnya limu limu ku mannya ga batabani ba Yisirayeli, okujjukiranga ebika bya Yisirayeli ekkumi n'ebibiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amayinja ne gaba ng'amannya g'abaana ba Isiraeri, ekkumi n'abiri, ng'amannya gaabwe; ng'akabonero bwe kasalibwa, buli muntu ng'erinnya lye, ebika ekkumi n'ebibiri.