Exodus 39:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baakola amapeesa agali ng'ekimuli kya rooza abiri n'empeta bbiri eza zaabu, empeta ebbiri ne bazisibira ku nsonda ebbiri ez'oku kipaapi eky'oku kifuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bakola fuleemu bbiri eza zaabu n’empeta bbiri eza zaabu; ne bassa empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakola amapeesa abiri (2) aga zaabu, n'empeta bbiri eza zaabu; ne bateeka empeta ebbiri ku nsonda zombi ez'eky'omu kifuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakola embu bbiri eza fuleemu eza zaabu n'empeta bbiri eza zaabu. Empeta ezo ebbiri ne baziteeka ku nsonda zombi eza waggulu ez'ekyambalo eky'omu kifuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakola amapeesa abiri aga zaabu, n'empeta bbiri eza zaabu; ne bateeka empeta ebbiri ku nsonda zombi ez'eky'omu kifuba.