Exodus 39:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne banyweza ekipaapi eky'oku kifuba nga bayisa wuzi eya bbululu mu mpeta zaakyo n'ez'efodi, ekipaapi eky'oku kifuba kiryoke kituule waggulu w'ekimyu ky'efodi, ekipaapi eky'okukifuba nga tekyawukanye n'efodi, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baasiba empeta ez’oku kyomukifuba wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi n’akaguwa aka bbululu, ne bakagatta n’omusipi ekyomukifuba kireme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eya efodi. Byakolebwa nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basiba eky'omu kifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu, n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibbwa n'amagezi, era eky'omu kifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga Mukama bwe yalagira Musa, ne baddira akawuzi aka langi eya bbululu, ne basiba empeta z'ekyambalo eky'omu kifuba, ku mpeta z'ekkanzu, ekyambalo eky'omu kifuba kiryoke kibeere ku lukoba lw'ekkanzu olulukiddwa obulungi, era kireme kusumululwangako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basiba eky'omukifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era eky'omu kifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu; nga Mukama bwe yalagira Musa.