Exodus 39:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulimu gwonna ogw'Ekisulo, Weema ey'Ensisinkano, ne guggwa bwe gutyo. Abayisirayeli baakolera ddala byonna ng'Omukama bwe yali alagiridde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe gutyo omulimu gwonna ogw’okukola Eweema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne guggwa; ng’abaana ba Isirayiri bakoze ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'ennyumba ey'Eweema ey'okusisinkanirangamu ne guggwa; era abaana ba Isiraeri baakola byonna nga Mukama bye yalagira Musa bwe byali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama ne guggwa. Abayisirayeli ne bakola buli kintu nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu ne guggwa: era abaana ba Isiraeri baakola nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe baakola bwe batyo.