Exodus 39:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baleeta Ekisulo eri Musa, Weema na byonna ebikozesebwamu: ebikwaso byayo, embaawo zaayo, emikiikiro gyayo, empagi zaayo n'entobo zaayo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Weema ya Mukama ne bagireetera Musa; Eweema ya Mukama yonna ne byonna ebyali bigirimu: ebisiba byayo, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagireetera Musa Eweema, n'ebintu byayo byonna, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baleetera Musa Eweema Entukuvu n'ebintu byayo, byonna: amalobo gaayo, embaawo zaayo, emikiikiro gyayo, ebikondo byayo, n'ebinnya byayo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagireetera Musa ennyumba, Eweema, n'ebintu byayo byonna, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo;