Exodus 39:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
entimbe z'oluggya, empagi zaalwo, entobo zaazo, n'olutimbe lwa wankaaki w'oluggya, emiguwa gyalwo, enkondo zaalwo na byonna ebikozesebwa mu kuweereza mu Kisulo kya Weema ey'Ensisinkano:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
entimbe ez’oku bisenge, eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula, n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya, emiguwa gyalwo n’enkondo zaalwo; ne byonna ebikozesebwa olw’emirimu gy’omu Weema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eby'okutimba eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byalwo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya emigwa gyalwo, n'enninga zaalwo, n'ebintu byonna eby'okuweereza okw'omu nnyumba, eby'Eweema ey'okusisinkanirangamu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
entimbe ez'okutimba oluggya n'ebikondo byazo, n'ebinnya; olutimbe olw'omu mulyango gw'oluggya, n'emiguwa gyalwo, n'enkondo zaalwo; n'ebintu byonna eby'okukozesa mu Weema Entukuvu ey'okusisinkanirangamu Mukama;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eby'okutimba eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byalwo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya, emigwa gyalwo, n'enninga zaalwo, n'ebintu byonna eby'okuweereza okw'omu nnyumba, eby'eweema ey'okusisinkanirangamu;