Exodus 39:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'akebera omulimu gwonna, n'alaba nga baali bagukoze ng'Omukama bwe yali amulagiridde. Awo Musa n'abawa omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’akebera omulimu gwonna, era n’alaba nga bagumalirizza. Nga Mukama bwe yalagira, nabo bwe batyo bwe baagukola. Awo Musa n’abasabira omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'alaba omulimu gwonna, era laba, baali nga bagumaze; nga Mukama bwe yalagira, bwe batyo bwe baali bagukoledde ddala; Musa n'abasabira omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'akebera omulimu gwonna, n'alaba nga bagumalirizza, era nga bagukoledde ddala nga Mukama bwe yalagira. Musa n'abasabira omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'alaba omulimu gwonna, era, laba, baali nga bagumaze; nga Mukama bwe yalagira, bwe batyo bwe baali bagukoledde ddala: Musa n'abasabira omukisa.