Exodus 39:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyali kyenkanankana ku njuyi zonna; ne bakifunyamu wabiri: oluta lumu mu buwanvu n'oluta lumu mu bugazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyali kyenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri ne desimoolo ttaano nga kimaze okuwetebwamu wakati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyali kyenkanankana enjuyi zonna; eky'omu kifuba baakifunyamu: obuwanvu bwakyo luta, n'obugazi bwakyo luta, nga kifunyiddwamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyali kyenkanankana enjuyi zonna era nga kifunyiddwamu wabiri: sentimita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, ne sentimita amakumi abiri mu bbiri obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenkanankana enjuyi zonna; eky'omu kifuba baakifunyamu: obuwanvu bwakyo luta, n'obugazi bwakyo luta, nga kifunyiddwamu.