Exodus 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Musa n'addamu nti: “Bwe batanzikirize, oba bwe batampulirize, ne bagamba nti: ‘Omukama takulabikiranga.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’addamu nti, “Tebagenda kunzikiriza, wadde okuwuliriza ebyo bye mbagamba: kubanga bagenda kwogera nti, Mukama takulabikiranga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'addamu nti, “Tebalinzikiriza era tebaliwulira bigambo byange; kubanga baligamba nti, ‘Mukama teyakulabikira.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'addamu nti: “Naye tebalinzikiriza, era tebaliwuliriza kye mbagamba, kubanga baligamba nti: ‘Mukama teyakulabikira!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'addamu n'ayogera nti Naye, laba, tebalinzikiriza so tebaliwulira ddoboozi lyange: kubanga balyogera nti Mukama teyakulabikira.