Exodus 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba nti: “Mukama wange, sibangako mwogezi mulungi, jjo na luli, era n'okuva lwe watandise okwogera n'omuweereza wo, okwogera n'olulimi binzitoowerera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba Mukama nti, “Ayi Mukama wange, siri mwogezi mulungi okuva edda n’edda, wadde ne mu kiseera kino ggwe kaayogerera nange, omuddu wo; njogera nnembeggerera ate nga bwe nnaanaagira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Mukama nti, “Ayi Mukama siri mwogezi mulungi okuva ddi na ddi, wadde okuva lwe watandise okwogera nange; kubanga soogera mangu, era n'ebigambo byange si bingi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba Mukama nti: “Ayi Mukama, sibangako mwogezi mulungi okuva ddi na ddi, wadde okuva lwe watandise okwogera nange, kubanga soogera mangu, era ntamattama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Mukama nti Ai Mukama, nze siri muntu wa bigambo okuva ddi na ddi, newakubadde okuva lw'oyogedde n'omuddu wo: kubanga soogera mangu, n'olulimi lwange luzito.