Exodus 4:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amuddamu nti: “Ani yawa omuntu akamwa? Ani amufuula kasiru oba kiggala, amuwa okulaba, oba n'amufuula muzibe? Si Nze, Omukama?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’amuddamu nti, “Ani yakola akamwa k’omuntu? Ani yatonda bakasiru, ne bakiggala, n’abatunula, ne bamuzibe? Si nze, Mukama?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amubuuza nti, “Ani eyakola akamwa k'omuntu? Oba ani akola kasiru oba kiggala oba alaba, oba muzibe? Si nze Mukama?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amugamba nti: “Ani yakola akamwa k'omuntu? Ani amufuula kasiru, oba kiggala? Ani amuwa okulaba oba okuba muzibe? Si ye Nze Mukama?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amugamba nti Ani eyakola akamwa k'omuntu? Oba ani akola kasiru oba omuzibe w'amatu oba atunula oba muzibe w'amaaso? Si nze Mukama?