Exodus 4:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, genda, nzija kukuyambanga okwogera ate nkubuulire ky'onooyogeranga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano, genda! Nnaakuyambanga ng’oyogera, era nnaakuyigirizanga by’onooyogeranga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, kaakano genda, nange ndibeera wamu naawe, ndikusobozesa okwogera era ndikutegeeza by'olyogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano genda, ndikusobozesa okwogera, era ndikutegeeza by'olyogera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, kaakano genda, nange ndibeera wamu n'akamwa ko, ndikuyigiriza by'olyogera.