Exodus 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Musa, n'agamba nti: “Aroni muganda wo Omuleevi taliiwo? Mmumanyi mwogezi mulungi. Wuuyo ajja okukusisinkana; bw'anaakulaba ajja kusanyuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’asunguwalira nnyo Musa, n’amugamba nti, “Muganda wo Alooni Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga mwogezi mulungi; era, laba, ajja gy’oli, era bw’anaakulabako ajja kusanyuka mu mutima gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Musa, n'ayogera nti, “Alooni muganda wo, Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga ayinza okwogera obulungi. Era, laba, wuuyo ajja okukusisinkana; bw'anaakulaba ajja kusanyuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'asunguwalira Musa, n'agamba nti: “Muganda wo Arooni Omuleevi taliiwo? Mmanyi ng'ayinza okwogera obulungi. Era wuuyo ajja okukusisinkana, era bw'anaakulaba, ajja kusanyuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Musa, n'ayogera nti Alooni Omuleevi muganda wo taliiwo? Mmanyi nti ayinza okwogera obulungi. Era, laba, ajja okukusisinkana: bw'alikulaba, alisanyuka mu mutima gwe.