Exodus 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ojja kwogera naye, omutegeeze ebigambo byange. Nze nzija kubayamba okwogera, ggwe naye, mbalagirire eky'okukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe ojja kwogeranga naye, nze nnaakutegeezanga ky’onoomugambanga, nange n’abayambanga mwembi, ne mbayigiriza eky’okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ggwe onooyogeranga naye, n'omutegeeza by'anaayogeranga. Nange nnaabasobozesaga mmwembi okwogera, era nnaabategeezanga bye munaakolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ggwe onooyogeranga naye, n'omutegeeza by'anaayogeranga. Nange nnaabasobozesanga mwembiriri okwogera, era nnaabategeezanga bye munaakolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe olimugamba, era oliteeka ebigambo mu kamwa ke: nange ndibeera wamu n'akamwa ko, n'akamwa ke, ndibayigiriza bye mulikola.