Exodus 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye y'alyogera eri abantu mu kifo kyo, y'anaabeeranga akamwa ko, ggwe onoobeeranga nga Katonda gy'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Y’anaakwogereranga eri abantu, ng’abategeeza bye wandiyogedde; ggwe n’oba nga Katonda gy’ali, ng’omutegeezanga by’anaayogeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni ye anaabeeranga omwogezi wo, anaakwogereranga eri abantu. Naawe olimubeerera nga Katonda, ng'omutegeeza by'anaayogeranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni ye anaabeeranga omwogezi wo, anaakwogereranga eri abantu. Naawe ku lulwe oliba nga Katonda, ng'omutegeeza ky'anaayogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye alibeera mutegeeza wo eri abantu: awo alikubeerera kamwa, naawe olimubeerera nga Katonda.