Exodus 4:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Genda, ddayo e Misiri, kubanga abo bonna abaali baagala okukutta, bafudde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’ayogera ne Musa e Midiyaani nti, “Genda, oddeyo e Misiri kubanga abantu bonna abaali baagala okukutta, baafa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa bwe yali ng'akyali mu Midiyaani, Mukama n'agamba nti, “ddayo e Misiri kubanga abantu bonna abaali baagala okukutta baafa dda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa bwe yali ng'akyali mu Midiyaani, Mukama n'amugamba nti: “Ddayo mu Misiri, kubanga abo bonna abaali baagala okukutta, bafudde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa mu Midiyaani nti Genda, oddeyo mu Misiri: kubanga abantu bonna abaali bakunoonya obulamu bwo bafudde.