Exodus 4:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'addira mukazi we ne batabani be n'abassa ku ndogoyi, n'asitula okuddayo mu nsi y'e Misiri, n'akwata mu ngalo omuggo gwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’addira mukyala we n’abaana be, n’abassa ku ndogoyi, n’asitula okuddayo mu nsi y’e Misiri, ng’akutte omuggo gwa Katonda mu ngalo ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'atwala omuggo gwa Katonda, ne mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'e baddayo e Misiri
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'atwala mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'addayo nabo mu nsi y'e Misiri, ng'akutte omuggo, Katonda gwe yamugamba okutwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'atwala mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'addayo mu nsi y'e Misiri: Musa n'atwala omuggo gwa Katonda mu mukono gwe.