Exodus 4:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Kaakano bw'oddayo mu Misiri, okolanga mu maaso ga Faraawo ebikuuno byonna bye nkuwaddeko obuyinza. Nze nzennyini ndigugubya omutima gwe, abantu n'atabata kugenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oddangayo e Misiri, okoleranga ebyamagero ebyo byonna bye nkulaze, awali Falaawo. Nze ndikakanyaza omutima gwe, abantu bange aleme okubakkiriza okugenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Bw'otuukanga e Misiri okolanga eby'amagero byonna bye nkulaze mu maaso ga Falaawo. Nange ndikakanyaza omutima gwe n'attakkiriza bantu kugenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa bwe yali ng'addayo mu Misiri, Mukama n'amugamba nti: “Tolemanga kukolera mu maaso ga kabaka ebyamagero byonna bye nkuwaddeko obuyinza okukola. Naye ndikakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka bantu kugenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Bw'oliddayo mu Misiri, tolemanga kukola mu maaso ga Falaawo amagero gonna ge nteese mu mukono gwo: naye ndikakanyaza omutima gwe, talibaleka abantu okugenda.