Exodus 4:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo omugambanga nti: ‘Omukama agamba kino: Yisirayeli ye mutabani wange omuggulanda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo omugambanga bw’oti nti, Mukama agambye nti, ‘Isirayiri mutabani wange, ye mwana wange omubereberye;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe oligamba Falaawo nti, bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Isiraeri ye mwana wange, omubereberye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olimugamba nti Nze Mukama ŋŋamba nti: ‘Yisirayeli ye mwana wange omuggulanda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe oligamba Falaawo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Isiraeri ye mwana wange, omubereberye wange: