Exodus 4:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakugamba: Leka mutabani wange agende ansinze. Ggwe tewamuleka. Oba toyagala kumuleka, kale nzija kutta mutabani wo omuggulanda.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nkulagira oleke omwana wange agende ampeereze; naye singa ogaana okumuleka okugenda, laba, nditta mutabani wo omubereberye.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nkugambye nti leka omwana wange ampeereze; naawe ogaanyi okumuleka; laba, nange nditta omwana wo omubereberye wo.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkugambye nti leka omwana wange agende ampeereze, naye ggwe n'ogaana. Kale nja kutta mutabani wo omuggulanda.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nange nkugambye nti Leka omwana wange ampeereze; naawe ogaanyi okumuleka: laba, nditta omwana wo, omubereberye wo.