Exodus 4:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago Zippora n'addira ejjinja ejjogi, n'asala akakuta k'obusajja bwa mutabani we, n'akakoona ku bigere bye, nga bw'agamba nti: “Mazima ku nze oli baze ow'omusaayi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Zipola n’addira ejjinja eryogi, n’akomola omwana we, ekikuta n’akisuula ku bigere bya Musa, n’amugamba nti, “Oli baze wa musaayi!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zipola, mukazi wa Musa n'addira ejjinja ery'obwogi n'akomola omwana we, ekikuta n'akiyisa ku bigere bya Musa, n'agamba nti, “oli baze wa musaayi!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zippora muka Musa, n'akwata ejjinja ery'obwogi, n'asalako ekikuta ky'omwana we, n'akiyisa ku bigere bya Musa, n'agamba nti: “Onfuukidde baze ow'omusaayi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zipola n'atwala ejjinja ly'obwogi, n'asalako ekikuta ky'omwana we, n'akisuula ku bigerebye; n'ayogera nti Oli baze wa musaayi era omwami w'obugole bw'omusaayi.