Exodus 4:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'amuleka, bwe yayogera atyo nti: “Oli baze ow'omusaayi,” ng'ategeeza olw'okutayirirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’amuleka. Mu kaseera ako Zipola we yayogerera ku kukomola nti, “Baze wange ng’osaabye omusaayi!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amuleka. Awo Zipola n'ayogera nate nti, “Oli baze wa musaayi olw'okukomola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aleka Musa. Olw'omukolo ogwo ogw'okukomola, Zippora kyeyava agamba Musa nti: “Onfuukidde baze ow'omusaayi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amuleka. N'alyoka ayogera nti Oli baze wa musaayi olw'okukomola.