Exodus 4:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Aroni nti: “Genda mu ddungu, osisinkane Musa” N'agenda n'amusisinkana ku lusozi lwa Katonda; n'amunywegera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Alooni nti, “Genda mu ddungu, osisinkane Musa. N’agenda, n’amusanga ku lusozi lwa Katonda, ne bagwaŋŋana mu bifuba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Alooni nti, “Genda mu ddungu osisinkane Musa.” N'agenda n'amusisinkana ku lusozi lwa Katonda, n'amunywegera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Arooni nti: “Genda mu ddungu osisinkane Musa.” N'agenda n'amusisinkana ku lusozi olutukuvu, n'amunywegera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Alooni nti Genda mu ddungu omusisinkane Musa. N'agenda n'amulaba ku lusozi lwa Katonda, n'amunywegera.