Exodus 4:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'ategeeza Aroni byonna Omukama bye yali agambye lwe yamukwasa omulimu, n'obubonero bwonna bwe yali amulagidde okukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’abuulira Alooni ebigambo byonna Mukama bye yali amutumye okwogera, n’obubonero bwonna obw’ebyamagero bwe yamulagira okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abuulira Alooni ebigambo byonna Mukama bye yamutuma, n'eby'amagero byonna bye yamulagira okukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'abuulira Arooni ebyo byonna Mukama bye yamutuma, n'ebyamagero byonna, bye yamulagira okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Alooni ebigambo byonna ebya Mukama bye yamutuma, n'obubonero bwonna bwe yamulagira.