Exodus 4:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni n'ayogera byonna Omukama bye yali agambye Musa, n'akola n'obubonero mu maaso g'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alooni n’abategeeza byonna Mukama bye yagamba Musa; era n’abakolera n’obubonero,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni n'abategeeza ebigambo byonna Mukama bye yagamba ne Musa, n'akola eby'amagero mu maaso g'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni n'ayogera byonna Mukama bye yagamba Musa, Musa n'akola ebyamagero mu maaso g'abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alooni n'ayogera ebigambo byonna Mukama bye yamugamba Musa, n'akola obubonero mu maaso g'abantu.