Exodus 4:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bakkiriza, ne basanyuka bwe baawulira nti Omukama alambudde Abayisirayeli, alabye ennaku zaabwe; ne bavunnama, ne basinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bakkiriza. Era bwe baawulira nga Mukama yakyalira abaana ba Isirayiri, n’alaba okubonaabona kwabwe, ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne bakkiriza; bwe baawulira nti Mukama yalabikira abaana ba Isiraeri n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bavuunama emitwe gyabwe, ne basinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze ne bakkiriza, era bwe baawulira nti Mukama yajja eri Abayisirayeli n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bakutamya ku mitwe gyabwe, ne basinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bakkiriza: bwe baawulira nti Mukama yabajjira abaana ba Isiraeri n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bavuunama emitwe gyabwe, ne basinza.