Exodus 4:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu ngeri eyo bajja kukkiriza nti Omukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, Katonda wa Yakobo yakulabikira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’amugamba nti, “Bw’olikola bw’otyo bagenda kukukkiriza, era balitegeera nga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olikola ekyo balyoke bakkirize nti Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Kola ekyo balyoke bakkirize nti Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo, akulabikidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balyoke bakkirize nti Mukama Katonda wa bajjajja baabwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, nti akulabikidde.