Exodus 4:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Zza omukono gwo mu kkanzu.” Musa n'azza omukono gwe mu kkanzu; okuguggyayo, nga guzzeewo ng'omubiri gwe omulala gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’amugamba nti, “Zzaayo omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” Musa n’azzaayo omukono gwe mu kyambalo kye. Bwe yaguggyaayo, laba nga gufuuse mulamu ng’omubiri gwe ogwa bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amugamba nate nti, “Omukono gwo guzze mu kifuba kyo.” N'aguzza mu kifuba kye; bwe yaguggya mu kifuba kye, laba ng'ebigenge biweddeko ng'afuuse ng'omubiri gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Omukono gwo guzzeemu mu kikondoolo kyo.” Musa n'aguzzaamu. Bwe yaguggyaamu, nga mulamu ng'ebitundu ebirala eby'omubiri gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Guzze omukono gwo mu kifuba kyo. (N'aguzza omukono gwe mu kifuba kye; bwe yaguggya mu kifuba kye, laba, nga gufuuse ng'omubiri (gwonna).