Exodus 4:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno bwe banaaba tebakukkirizza, nga n'akabonero akasooka tebakafuddeeko, akookubiri banaakakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Bwe batalikukkiririza ku kabonero akasoose, balikukkiririza ku kabonero akookubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka bwe batalikukkiriza kukuwulira ku kabonero ak'olubereberye, kale balikukkiriza ku kabonero ak'okubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Bwe batalikukkiriza, oba bwe batalimatizibwa kyamagero ekisoose, balikkiriza kino ekyokubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka bwe batalikukkiriza era bwe bataliwulira ddoboozi lya kabonero ak'olubereberye, balikkiriza eddoboozi ery'akabonero ak'okubiri.

Recommended Reading