Exodus 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye obubonero bwombi bwe bataabukkirize, ne bagaana okukuwuliriza, osenanga amazzi mu Kiyira n'ogafuka ku ttaka; amazzi g'oliba osenye mu Kiyira galifuuka omusaayi ku ttaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe bagaananga okukukkiriza nga bamaze okulaba obubonero obwo bwombi, osenanga amazzi mu mugga n’ogayiwa ku lukalu; amazzi ago g’olisena mu mugga, galifuuka omusaayi ng’ogayiye ku lukalu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe batalikkiriza bubonero buno bwombiriri era bwe bataliwulira by'obagamba, kale olisena ku mazzi g'omugga Kiyira n'ogayiwa ku lukalu; amazzi g'olisena mu mugga galifuuka omusaayi ku lukalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe batalikkiriza byamagero bino byombiriri, era bwe baligaana okuwuliriza by'ogamba, olisena ku mazzi g'omugga n'ogayiwa ku lukalu. Amazzi ago galifuuka omusaayi ku lukalu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe batalikkiriza bubonero buno bwombiriri era bwe bataliwulira ddoboozi lyo, olisena ku mazzi g'omugga n'ofuka ku lukalu: amazzi g'olisena mu mugga galifuuka omusaayi ku lukalu.