Exodus 40:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olisiiga omwaliiro ogw'ekitambiro ekyokye na byonna ebigukozesebwako; olitukuza omwaliiro gubeere ogusingira ddala obutukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olimansira amafuta ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebikozesebwako byonna, n’oyawula ekyoto, bwe kityo ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oligafukako ku kyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo, n'ebintu byakyo byonna, n'otukuza ekyoto; n'ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era oligusiiga ku alutaari ey'okwokerangako ebiweebwayo, n'ogusiiga ne ku bintu byayo byonna, n'ogitukuza. Olwo erifuuka ntukuvu nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oligafukako ku kyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo, n'ebintu byakyo byonna, n'otukuza ekyoto: n'ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo.