Exodus 40:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olibasiiga nga bw'osiize kitaabwe, bampeereze nga bakabona. Okusiigibwa kwabwe kuno kulibawa obwakabona obw'olubeerera amazadde gaabwe gonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’obasiigako amafuta, nga bwe wasiize ku kitaabwe, balyoke bampeereze nga bakabona: era okusiigibwako amafuta okwo kulibafuula bakabona ebbanga lyonna mu mirembe gyabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'obafukako amafuta, nga bw'ofuse ku kitaabwe, bampeerereze mu bwakabona: era bwe balifukibwako amafuta, kiribabeerera obwakabona obutalibavaako mu mirembe gyabwe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'obasiigako omuzigo nga bw'osiize ku kitaabwe, bampeerezenga mu bwakabona. Era okusiigibwako omuzigo, kulibafuula bakabona obulamu bwabwe bwonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'obafukako amafuta, nga bw'ofuse ku kitaabwe, bampeerereze mu bwakabona: era bwe balifukibwako amafuta, kiribabeerera obwakabona obutalibavaako mu mirembe gyabwe gyonna.