Exodus 40:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'aleeta Essanduuku mu Kisulo, n'awanika olutimbe olusiikiriza, n'asiikiriza bw'atyo Ssanduuku y'Endagaano, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ayingiza Essanduuko ey’Endagaano munda mu Weema ya Mukama, n’atimbawo eggigi, n’asiikiriza Essanduuko ey’Endagaano, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ayingiza ssanduuko mu Weema, n'atimba eggigi eryawulamu, n'asiikiriza essanduuko ey'obujulirwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayingiza Essanduuko ey'Endagaano, nga Mukama bwe yamulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayingiza ssanduuko mu weema, n'atimba eggigi eryawulamu, n'akisa essanduuko ey'obujulirwa; nga Mukama bye yalagira Musa.