Exodus 40:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yassa ekinaabirwamu wakati wa Weema ey'Ensisinkano, n'omwaliiro n'assaamu amazzi ag'okunaaba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atereeza ebbensani wakati wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, n’assaamu amazzi ag’okunaaba;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ateeka ekinaabirwamu wakati w'Eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'akifukamu amazzi, okunaabiramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ateeka ebbenseni wakati wa Weema eyo n'alutaari, n'agiteekamu amazzi ag'okunaaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ateeka ekinaabirwamu wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'akifukamu amazzi, okunaabiramu.