Exodus 40:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lwe baayingiranga Weema ey'Ensisinkano oba okusemberera omwaliiro, nga banaaba ng'Omukama bwe yali alagiridde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lwe baayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne buli lwe baasembereranga ekyoto nga banaaba, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe baayingiranga mu Weema ey'okusisinkanirangamu, era bwe baasembereranga ekyoto, banaabanga, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
buli lwe baasembereranga alutaari, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe baayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, era bwe baasembereranga ekyoto, baanaabanga: nga Mukama bwe yalagira Musa.