Exodus 40:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yali tasobola kuyingira mu Weema ey'Ensisinkano olw'okubeera ekire ekyagibuutikira n'olw'okubeera ekitiibwa ky'Omukama ekyali kijjuzza Ekisulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’atasobola kuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kubanga ekire kyagibuutikira, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijijjula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'atayinza kuyingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, kubanga ekire kyagituulako, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'atayinza kuyingira mu Weema eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'atayinza kuyingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, kubanga ekire kyagituulako, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba.