Exodus 40:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ekire ky'Omukama kyawummulanga ku Kisulo emisana, omuliro ne gukyakiramu ekiro, mu maaso g'ennyumba ya Yisirayeli yonna mu ŋŋendo zaabwe zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ng’abaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema emisana, n'ekiro ne mubangamu omuliro, mu maaso g'ennyumba ya Isiraeri yonna, mu lugendo lwabwe lwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli mu lugendo lwabwe lwonna, baalabanga ekire kya Mukama nga kiri waggulu w'Eweema Entukuvu mu budde obw'emisana. Ate mu budde obw'ekiro, baalabanga omuliro nga gwakira waggulu waayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekire kya Mukama kyabeeranga ku weema emisana, n'ekiro ne mubangamu omuliro, mu maaso g'ennyumba ya Isiraeri yonna, mu lugendo lwabwe lwonna.